Deuteronomy 7:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama alikutaliza buli ndwadde; talikuleetera ndwadde za ntiisa ez'e Misiri ze walabako, wabula alizireetera abo bonna abakukyawa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama takkirizenga ndwadde yonna kukukwata. So taakuleeterenga ndwadde ezo ez’akabi, ze wamanyanga, ez’e Misiri, naye anaazireeteranga abo bonna abakukyawa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama anaakukuumanga eri endwadde zonna, taakussengako n'emu ku ndwadde embi ez'e Misiri z'omanyi; naye anaazissanga ku abo bonna abakukyawa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama anaaziyizanga buli bulwadde okubakwata. Era taabalwazenga ndwadde mbi ez'e Misiri ze mumanyi, naye anaazirwazanga abo bonna ababakyawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama anaakuggyangako obulwadde bwonna; so taakussengako n’emu ku ndwadde embi ez'e Misiri, z'omanyi; naye anaazissanga ku abo bonna abakukyawa.