Deuteronomy 7:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Oyinza okugamba mu mutima gwo nti: ‘Amawanga gano ga maanyi okutusinga, tunaasobola tutya okugagobawo?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyinza okwebuuza mu mutima gwo nti, “Amawanga ag’amaanyi gatyo okutusinga, tulisobola tutya okugagoba mu nsi zaago?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Toyogeranga mu mutima gwo nti amawanga gano gansinga obungi; siyinza kubawangula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe muneebuuzaganyanga nti: ‘Ab'amawanga gano nga batusinga obungi! Tuyinza tutya okubagobamu?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'onooyogeranga m mutima gwo nti Amawanga gano gansinga obungi; nnyinza ntya okubanyaga?