Deuteronomy 7:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga bwe yakuggyayo n'ebigezo ebinene amaaso go bye gaalaba, obubonero, ebikuuno, omukono ogw'amaanyi, n'omukono omugolole; n'amawanga gonna g'otya bw'anaagakola atyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weerabirako n’amaaso go gennyini ebibonoobono, n’obubonero obw’ebyamagero, n’eby’ekyewuunyo, Mukama bye yakozesa okukuggya mu nsi y’e Misiri n’omukono gwe omuwanvu ogw’amaanyi. Mukama Katonda wo bw’atyo bw’anaakolanga amawanga ago gonna g’otya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ojjukiranga ebibonyoobonyo, n'eby'amagero, n'omukono ogw'amaanyi, bye walaba; Mukama Katonda wo bye yakozesa okubanunula. Bw'atyo Mukama Katonda wo bw'anaakolanga amawanga gonna g'otya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mujjukire ebigezo eby'amaanyi bye mwalabako n'amaaso gammwe, n'ebyewuunyo n'ebyamagero, n'obuyinza obungi n'amaanyi, Mukama Katonda wammwe bye yakozesa okubanunulayo mmwe. Bw'atyo Mukama Katonda wammwe bw'alikola ne ku b'amawanga gonna ge mutya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okukemebwa okunene amaaso go kwe gaalaba, n'obubonero, n'eby'amagero, n’engalo ez'amaanyi, n'omukono ogwagololwa Mukama Katonda wo bye yakuggisaamu: bw'atyo Mukama Katonda wo bw'anaakolanga amawanga gonna g'otya.