Deuteronomy 7:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda wo ng'amaze okugakuwa mu mikono gyo, ng'obakuba, obazikiririzanga ddala, tokolanga nabo ndagaano, era tobakwatirwanga kisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda wo ng’amaze okugagabula mu mukono gwo, ng’obawangudde, kikugwanira obazikiririze ddala. Tokolanga nabo ndagaano, so tobakwatirwanga kisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era Mukama Katonda wo bw'alibakuwa n'obawangula, n'obatta, obasaanyinzangawo ddala, tolagaananga nabo endagaano yonna, so tobalaganga kisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda wammwe bw'aliteeka abantu abo mu mikono gyammwe ne mubawangula, mubasaanyizangawo ddala. Temukolanga nabo ndagaano n'emu, era temubakwatirwanga kisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era Mukama Katonda wo bw'alibagabula mu maaso go, naawe n'obatta; n'olyoka obazikiririza ddala; tolagaananga nabo ndagaano yonna, so tobalaganga kisa: