Deuteronomy 7:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Tobatyanga, kubanga Omukama Katonda ali mu makkati gammwe, Katonda mukulu, wa ntiisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tobatyanga, kubanga Mukama Katonda wo abeera wakati mu mmwe, mukulu era wa ntiisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tobatyanga; kubanga Mukama Katonda wo ali naawe mukulu era wa ntiisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temutyanga, kubanga Mukama Katonda wammwe ali nammwe, ate nga mukulu era wa ntiisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tobatekemukiranga: kubanga Mukama Katonda wo ali wakati wo, Katonda omukulu era ow'entiisa.