Deuteronomy 7:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabaka baabwe agenda kubakuwa mu mikono gyo, amannya gaabwe ogasangulewo wansi w'eggulu; tewaliba n'omu asobola kukuziyiza; olibasanyaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Anaagabulanga bakabaka baago mu mukono gwo n’osangulira ddala amannya gaabwe okuva wansi w’eggulu. Tewaabengawo muntu n’omu anaayimiriranga mu maaso go okukwaŋŋanga, ojjanga kubazikiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bakabaka baabwe anaabawangayo mu mukono gwo, n'obazikiriza ne beerabirwa mu nsi. Tewaabenga muntu anaayinzanga kukuziyiza kubazikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aliwaayo bakabaka baabwe mu mikono gyammwe. Mulibazikiriza, ne beerabirwa ku nsi. Tewaliba muntu n'omu ayinza kubaziyiza mmwe. Mulibasaanyaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era anaagabulanga bakabaka baabwe mu mukono gwo, era onoozikirizanga erinnya lyabwe okuva wansi w'eggulu: tewaabenga muntu anaayinzanga okuyimirira mu maaso go, okutuusa lw'olibazikiriza.