Deuteronomy 7:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ebifaananyi byabwe ebya balubaale obyokyanga omuliro; teweegombanga ffeeza na zaabu abiriko, tomwetwaliranga, sikulwa ng'akufuukira omutego; kubanga Omukama Katonda wo ebyo abyenyinyala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe munaabyokyanga mu muliro. Teweegombanga zaabu na ffeeza anaabibeerangako. So tomwetwaliranga alemenga kukufuukira mutego; kubanga ekikolwa ekyo kya muzizo eri Mukama Katonda wo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe munaabyokyanga omuliro. Teweegombanga ffeeza newakubadde zaabu abiriko, so tobyetwaliranga bireme kukufuukira mutego, kubanga bya mizizo eri Mukama Katonda wo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebifaananyi ebyole ebya balubaale baabwe, mubyokyanga omuliro. Temuululunkanirenga ffeeza wadde zaabu abiriko, era temuumutwalenga, sikulwa ng'abafuukira omutego, kubanga ekyo Mukama Katonda wammwe akikyayira ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe munaabyokyanga omuliro: teweegombanga ffeeza newakubadde zaabu ebiriko, so teweetwaliranga, oleme okutegebwa mu ebyo: kubanga mizizo eri Mukama Katonda wo: