Deuteronomy 7:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Toleetanga ekyenyinyalwa mu nnyumba yo, sikulwa nga naawe, okufaanana nga byo, osalirwa okuzikirizibwa. Obyetamirwanga ddala era n'obyenyinyala, kubanga bino bisaliddwa okuzikirizibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Toyingizanga mu nnyumba yo kintu kyonna ekyomuzizo, olemenga kuba mukolimire ng’ekintu ekyo bwe kiri. Onookikyayiranga ddala era onookitamirwanga ddala, kubanga kyakolimirwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Toleetanga kintu kya muzizo mu nnyumba yo, naawe oleme kufuuka eyakolimirwa nga kyo, naye onokikyayiranga ddala, era onookitamirwanga ddala; kubanga kintu ekyakolimirwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temuuleetenga kya muzizo na kimu mu mayumba gammwe, nammwe muleme kukolimirwa nga kyo. Mukikyayiranga ddala era mukitamirwanga ddala, kubanga kyakolimirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so toleetanga kintu kya muzizo mu nnyumba yo, naawe n'ofuuka ekyakolimirwa okufaanana nga kyo: onookikyayiranga ddala, era onookitamirwanga ddala; kubanga kiatu ekyakolimirwa.