Deuteronomy 7:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga bagenda kukyamya batabani bo, balekeyo okungoberera, baweereze balubaale abagwira, amangu ago obusungu bw'Omukama bugenda kubeesererako bubazikirize.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bagenda kukyamya mutabani wo alekerengaawo okugoberera Mukama, baweerezenga bakatonda abalala; era obusungu bwa Mukama bunaababuubuukirangako n’akuzikiriza mangu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bwe mulikikola, ab'amawanga ago balikyusa abaana bammwe ne babaggya ku Mukama, ne basinza bakatonda abalala, Mukama n'abasunguwalira mmwe, era n'abazikiriza mangu ago.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga bwe mulikikola, ab'amawanga ago balikyusa abaana bammwe ne babaggya ku Mukama, ne basinza balubaale, Mukama n'abasunguwalira mmwe, era n'abazikiriza amangwago.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga alikyusa mutabani wo obutangoberera, baweerezenga bakatonda abalala: obusungu bwa Mukama bulibuubuuka bwe butyo ku mmwe, era alikuzikiriza mangu.