Deuteronomy 7:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabula bino bye mubakolanga: emyaliiro gyabwe mugimenyangawo, amayinja ge baasimba mugaasaayasanga, empagi zaabwe eza Asera muzitemanga, n'ebifaananyi byabwe ebya balubaale mubyokyanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe muti bwe munaakolanga: Munaamenyanga ebyoto bya bakatonda baabwe, ne mwasaayasa amayinja gaabwe ge bawonga, ne mubetentabetenta empagi zaabwe eza Asera, ne mwokya bakatonda baabwe mu muliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye munaabakolanga bwe muti: munaamenyamenyanga ebyoto byabwe, munaabetentanga n'empagi zaabwe, munaatemaatemanga ne Baasera baabwe, n'ebifaananyi byabwe ebyole munaabyokyanga omuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mulibayisa bwe muti: mulimenyaamenya alutaari zaabwe, muliyasaayasa empagi za balubaale baabwe ez'amayinja, era mulitemaatema ebifaananyi bya lubaale waabwe Asera, n'ebifaananyi byabwe ebyole, ne mu byokya omuliro,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe muti bwe munaabakolanga; munaamenyaamenyanga ebyoto byabwe, mu naabetentanga n'empagi zaabwe, munaatemaatemanga ne Baasera baabwe, n'ebifaananyi byabwe ebyole munaabyokyanga omuliro.