Deuteronomy 7:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga ku Mukama Katonda wo oli ggwanga lye ttukuvu. Ggwe Omukama Katonda wo yakulonda n'akwebonanya obeere eggwanga lye, ekkula lye, mu mawanga gonna agali ku nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga oli ggwanga ttukuvu eri Mukama. Mukama Katonda wo yakulonda okuva mu mawanga gonna agali ku nsi okubeeranga eggwanga lye, lye yeefunira ly’asuuta ennyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga gw'oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo: Mukama Katonda wo yakulonda okuba eggwanga ery'envuma gy'ali okusinga mawanga gonna agali mu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga muli ggwanga lya Mukama Katonda wammwe. Yabalondamu okuba eggwanga lye eryenjawulo mu mawanga gonna agali ku nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga gw'oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo: Mukama Katonda wo yakulonda okuba eggwanga ery'envuma gy'ali, okusinga amawanga gonna agali ku maaso g'ensi.