Deuteronomy 7:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Manya nti Omukama Katonda wo yennyini ye Katonda, Katonda omwesigwa, akuumira endagaano n'ekisa mu mazadde n'amazadde abamwagala n'abakwata ebiragiro bye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo osaananga okukitegeeranga nga Mukama Katonda wo ye Katonda; Katonda omwesigwa akuuma endagaano ye ey’okwagala okutaggwaawo eri abamwagala era abagondera ebiragiro bye okutuuka ku mirembe olukumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale Tegeera nga Mukama Katonda wo ye Katonda yekka omwesigwa, akuuma endagaano ye era asaasira abo abamwagala era abeekuuma ebiragiro bye emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo mumanye nga Mukama Katonda wammwe, ye Katonda yekka era nga mwesigwa. Akuuma endagaano ye, era akwatirwa ekisa amazadde olukumi ag'abo abamwagala era abakuuma ebiragiro bye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale manya nga Mukama Katonda wo ye Katonda; Katonda omwesigwa, akwata endagaano n'okusaasira eri abo abamwagala ne beekuuma ebiragiro bye okutuusa emirembe olukumi;