Deuteronomy 8:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Wekkaanye, buli kiragiro kye nkulagira olwa leero okituusanga mulyoke mubeere balamu, mweyongere obungi era muyingire ensi mugitwale, ensi Omukama gye yalayirira bajjajjammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mugonderanga amateeka gonna ge nkulagira leero, mulyoke mubeerenga balamu era mwale, muyingire ensi Mukama Katonda gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa mmwe ng’obutaka bwammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ebiragiro byonna bye mbalagira leero munaabikwatanga ne mubikola, mulyoke mubeerenga abalamu, mwalenga, muyingire mutuule mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ebiragiro byonna bye mbawa olwaleero musseeyo omwoyo okubituukirizanga, mulyoke mubenga abalamu, mweyongere okwala, mwefuge ensi Mukama gye yeerayirira okuwa bajjajjammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekiragiro kyonna kye nkulagira leero munaakikwatanga okukikola, mulyoke mubenga abalamu, mwalenga, muyingire mulye ensi Mukama gye yalayirira bajjajja bammwe.