Deuteronomy 8:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Wandiyinza okwegamba mu mutima gwo nti: ‘Obuzira n'amaanyi g'emikono gyange bye binkoledde obugagga buno.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weekuumenga, olemenga okulowoozanga mu mutima gwo nti, ‘Obugagga buno bwonna mbufunye olw’obuyinza bwange n’amaanyi g’emikono gyange.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temwogeranga mu mitima gyammwe nti, ‘Obuyinza bwaffe n'amaanyi g'emikono gyaffe bye bitufunidde obugagga buno.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muleme kugamba mu mitima gyamwe nti: ‘Obuyinza bwaffe n'amaanyi gaffe bye bitufunyisizza obugagga.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era olemenga okwogera mu mutima gwo nti Obuyinza bwange n’amaanyi g'omukono gwange bye binfunidde obugagga buno.