Deuteronomy 8:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabula jjukira Omukama Katonda wo nti ye yakuwa amaanyi n'ofuna obugagga, ng'atuukiriza endagaano ye gye yalayirira bajjajjaabo, nga bwe kyeraga olwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ojjukiranga Mukama Katonda wo, kubanga y’akuwa obuyinza okufuna obugagga, alyoke atuukirize endagaano ye gye yalayirira bajjajjaabo, nga bwe kiri leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye munajjukiranga Mukama Katonda wammwe, kubanga oyo y'abawa obuyinza okufuna obugagga; alyoke atuukirize endagaano gye yalayirira ne bajjajjammwe nga bwe kiri leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mujjukirenga Mukama Katonda wammwe, kubanga ye abasobozesa okugaggawala, ng'atuukiriza na buli kati endagaano gye yalayirira bajjajjammwe nti anaagikuumanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye onojjukiraaga Mukama Katonda wo, kubanga oyo yakuwa obuyinza okufuna obugagga; anyweze endagaano ye gye yalayirira bajjajja bo, nga leero.