Deuteronomy 8:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bw'olyerabira Omukama Katonda wo, n'ogoberera balubaale abagwira, n'obasinza, n'obavunnamira, nkukakasiza ddala olwa leero nti mulizikiririra ddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bwe kanaakutandanga ne weerabiranga Mukama Katonda wo, n’ogobereranga bakatonda abalala, n’obasinzanga n’obavuunamiranga, mbategeeza mmwe leero nti ddala ddala mugenda kuzikirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olunaatuukanga, bwe muneerabiranga Mukama Katonda wammwe ne mugoberera bakatonda abalala ne mubaweereza, ne mubasinza, mbategeeza leero nga temulirema kuzikirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe mulyerabira Mukama Katonda wammwe ne mugoberera balubaale, ne mubaweereza era ne mubasinza, mbakakasa olwaleero nti temulirema kuzikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olunaatuukanga, bw'oneerabiranga Mukama Katonda wo n'ogoberera bakatonda abalala n'obaweereza n'obasinza, mbategeeza leero nga temuulemenga kuzikirira.