Deuteronomy 8:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bwe muligaana okuwulira eddoboozi ly'Omukama Katonda wammwe, nammwe mugenda kuzikirira ng'amawanga Omukama ge yazikiriza mu maaso gammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga bwe mulaba amawanga Mukama g’azikiriza mu maaso gammwe, nammwe bwe mulizikirira bwe mutyo, bwe mutaligonderanga ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe muligaana okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe, nammwe mulizikirira bwe mutyo ng'amawanga Mukama g'alizikiriza mu maaso gammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe muligaana okuwulira Mukama Katonda wammwe, mulizikirira ng'ab'amawanga ago Mukama g'agenda okuzikiriza, mmwe nga mutuuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'amawanga Mukama g'azikiriza mu maaso gammwe, bwe munaazikiriranga bwe mutyo; kubanga temwakkiriza kuwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe.