Deuteronomy 8:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakutoowaza n'akulumya enjala, ate n'akuliisa ne manu, ggwe ne bajjajjaabo gye mwali mutamanyi, alyoke akuyigirize nti omuntu taba mulamu lwa mugaati gwokka, naye n'olw'ekigambo kyonna ekifuluma mu kamwa k'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era yakukkakkanya n’akulumya enjala, n’akuliisa emmaanu, gye wali tolabangako wadde bakadde bo okugiwulirako, alyoke akuyigirize nti omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abatoowaza n'abalumya enjala, n'abaliisa emmaanu gye mwali temumanyi wadde bajjajjammwe, alyoke abayigirize nti omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula n'olwa buli kigambo ekiva mu kamwa ka Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yabatoowaza n'abaleka okulumwa enjala, ate n'abagabula mannu, mmwe ne bajjajjammwe gye mwali mutamanyi, abayigirize nti omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula aba mulamu na buli kigambo Mukama ky'ayogera. Mat 4:4; Luk 4:4; Yow 6:31,49,58; Beb 9:4; Kub 2:17
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akutoowaza, n'akulumya enjala, n'akuliisa emmaanu, gye wali tomanyi, so ne bajjajja bo tebagimanyanga; akutegeeze ng'omuntu taba mulamu na mmere yokka, naye olwa buli ekiva mu kamwa ka Mukama omuntu kyava aba omulamu.