Deuteronomy 8:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno kwatanga ebiragiro by'Omukama Katonda wo, otambulirenga mu makubo ge, era omutyenga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Onookwatanga amateeka ga Mukama Katonda wo ng’otambuliranga mu makubo ge, era ng’omutya, ng’omussaamu ekitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era muneekuumanga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe, ne mutambulira mu makubo ge nga mumussaamu ekitiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale mukuumenga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe, mugobererenga ebyo by'alagira, era mumussengamu ekitiibwa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oneekuumanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge, n’okumutyanga.