Deuteronomy 8:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ensi mwe mutalijula kantu, mw'oliriira omugaati gwo awatali kujula; ensi ey'amayinja ag'ekyuma n'ensozi omusimwa ekikomo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ensi, emmere gy’eteebeerenga ya bbula, nga buli ky’oneetaaganga onookifunanga; ensi, ng’ebyuma ge mayinja gaayo, era gy’onoosimanga ekikomo mu nsozi zaayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ensi mwonooliiranga emmere nga teggwaawo, toobengako ky'obulwa omwo; enjazi zaayo zirimu ekyuma, ne mu nsozi zaayo muyinza okusimamu ekikomo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu nsi eyo mulirya emmere n'etebaggwaako. Mu nsi eyo, temulibaako kye mujula. Enjazi zaayo zirimu ekyuma, ne mu nsozi zaayo muyinza okusimamu ekikomo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ensi mw'onooliiranga emmere n'etebula, toobengako ky'obulwa omwo; ensi amayinja gaayo kyuma, ne mu nsozi zaayo oyinza okusima ebikomo.