Deuteronomy 9:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Wulira, Yisirayeli, oli kumpi kusomoka Yorudani, oyingire, otwale amawanga agakusinga obunene n'amaanyi, ebibuga ebinene ebirina bbugwe akoma eyo ku ggulu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wulira, Ayi Isirayiri. Osemberedde olunaku lw’ojja okusomokerako omugga Yoludaani, oyingire mu nsi omuli amawanga agakusinga obunene, ogyetwalire ogyefunire. Olisangamu ebibuga ebinene ebyebulunguddwa ebigo ebyawanvuwa okutuuka ku ggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Muwulire, Mmwe abaana ba Isiraeri: Leero mugenda kusomoka Yoludaani, okuyingira okuwangula amawanga agabasinga obunene n'amaanyi, ebibuga ebinene ebyazimbibwako ebigo ebigulumivu ennyo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Muwulire mmwe Abayisirayeli: olwaleero mugenda okusomoka Omugga Yorudaani, muyingire era mwefuge ensi y'amawanga agasinga eggwanga lyammwe obunene n'amaanyi. Ebibuga byago binene era byazimbibwako ebigo ebigulumivu okutuuka mu bire.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wulira, ggwe Isiraeri: ogenda okusomoka Yoludaani leero, okuyingira okulya amawanga agakusinga obunene n'amaanyi, ebibuga ebinene ebyazimbibwako ebigo okutuuka mu ggulu,