Deuteronomy 9:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'ampa empande bbiri ez'amayinja eziwandiikiddwa n'engalo ya Katonda. Ku zo kwaliko ebigambo byonna bye yayogera nammwe ku lusozi ng'ayima mu muliro wakati, ekibiina kyonna lwe kyakuŋŋaana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda n’ampa ebipande bibiri eby’amayinja nga biwandiikiddwako n’engalo ya Katonda. Ku byo kwali kuwandiikiddwako amateeka Mukama ge yali abalangiridde ng’ali ku lusozi wakati mu muliro ku lunaku olwo nga mwenna mukuŋŋaanye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'ampa ebipande bibiri eby'amayinja ye yennyini byeyawandiikako n'engalo ye; bye bigambo byonna bye yayogera nammwe ku lusozi ng'asinziira wakati mu muliro, ku lunaku lwe mwakuŋŋaanirako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'ampa ebipande bibiri eby'amayinja, ye yennyini bye yawandiikako n'omukono gwe, ebigambo byonna bye yayogera nammwe ng'asinziira mu muliro wakati, ku lunaku lwe mwakuŋŋaanirako eyo ku lusozi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n’ampa ebipande bibiri eby'amayinja ebyawandiikibwako n'engalo ya Katonda; era ku byo kwawandiikibwa ng'ebigambo byonna bwe biri, Mukama bye yayogera nammwe ku lusozi ng'ayima wakati mu muliro ku lunaku olw'okukuŋŋaanirako.