Deuteronomy 9:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennaku bwe zaayita amakumi ana n'ebiro amakumi ana, Omukama n'ampa empande bbiri ez'amayinja, empande ez'Endagaano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku nkomerero y’ennaku amakumi ana n’ebiro amakumi ana Mukama Katonda n’ampa ebipande ebibiri eby’amayinja nga bye bipande eby’endagaano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka ennaku ana (40) bwe zaayitawo emisana n'ekiro, Mukama n'ampa ebipande ebibiri eby'amayinja, bye bipande eby'endagaano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ennaku ezo amakumi ana emisana n'ekiro, bwe zaayitawo, Mukama n'ampa ebipande ebibiri eby'amayinja, ebyawandiikibwako endagaano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka ennaku amakumi ana bwe zaayitawo emisana n'ekiro, Mukama n'ampa ebipande ebibiri eby'amayinja, bye bipande eby'endagaano.