Deuteronomy 9:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'aŋŋamba nti: ‘Vva wano mangu okkirire, kubanga abantu bo be waggya mu Misiri bakoze ekibi; bavudde mu kkubo lye nabalagira, bakoze ekifaananyi ekisaanuuse.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Situka ove mangu wano oserengete, kubanga abantu bo be waggya mu Misiri boonoonye. Beekyusizza mangu ne bava mu kkubo lye nabalagira okutambulirangamu, ne beekolera ekibumbe ekisaanuuse ekitali Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Golokoka ove wano, oserengete mangu; kubanga abantu bo be waggya mu Misiri boonoonye; bakyamye mangu okuva mu kkubo lye nnabalagira; beekoledde ekifaananyi ekisaanuuse.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Situka ove wano, oserengete mangu, kubanga abantu bo be waggya e Misiri boonoonese ne bakola ekitasaana. Bakyuse mangu ne bava ku mpisa ze nabalagira okukwata. Balina bye basaanuusizza, ne beekoleramu ekifaananyi.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'aŋŋamba nti Golokoka ove wano oserengete mangu: kubanga abantu bo be waggya mu Misiri beeyoonoonye; bakyamye mangu okuva mu kkubo lye nnabalagira; beekoledde ekifaanaayi ekisaanuuse.