Deuteronomy 9:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndeka mbawemmente, erinnya lyabwe ndisangule wansi w'eggulu, mu ggwe mwe nnaakola eggwanga eribakira amaanyi n'obunene.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Leka mbazikirize, erinnya ly’eggwanga lyabwe ndisangulewo wansi w’eggulu. Ndikuggyamu eggwanga eddene era ery’amaanyi okusinga eggwanga lyabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ndeka mbazikirize, nsangule erinnya lyabwe okuva ku nsi; naye ggwe ndikufuula eggwanga eribasinga amaanyi n'obukulu.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndeka mbazikirize, beerabirirwe ddala ku nsi. Ndisibusa mu ggwe eggwanga eddene era ery'amaanyi okusinga bo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ndeka mbazikirize, nsangule erinnya lyabwe wansi w'eggulu: era ndifuula ggwe eggwanga eribasinga amaanyi n'obukulu.