Deuteronomy 9:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ne nzikirira ne nva ku lusozi olwali lubuubuuka omuliro; nali nkutte mu mikono gyange empande ebbiri ez'Endagaano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe ntyo ne nkyuka ne nva ku lusozi ne nserengeta, ne ndeka ng’olusozi lwaka omuliro. Ebipande byombi eby’amateeka eby’endagaano nabirina mu mikono gyange gyombi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne nkyuka ne nva ku lusozi, nga lukyayaka omuliro, era n'ebipande eby'endagaano byombi nga biri mu mikono gyange gyombi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Awo ne nkyuka ne nserengeta okuva ku lusozi nga nkutte mu mikono gyange gyombi ebipande ebibiri eby'amayinja okwawandiikibwa endagaano. Olusozi lwali lwaka omuliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne nkyuka ne nva ku lusozi, era olusozi nga lwaka omuliro: n’ebipande eby'endagaano byombi nga biri mu mikono gyange gyombi.