Deuteronomy 9:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe natunula nti: ne ndaba nga mukoze ekibi ew'Omukama Katonda wammwe, nga mwekoledde akayana akasaanuuse ak'okusinza. Mwali muvudde mangu ku kkubo ly'Omukama lye yali abalagidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe natunula ne ndaba nga mwonoonye mu maaso ga Mukama Katonda wammwe; mwali mwekoledde ekitali Katonda nga mukibumbye okufaanana ng’ennyana; mwali mukyuse mangu okuva mu kkubo Mukama lye yali abalagidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ntunula, era, laba, mwali mumaze okusobya ku Mukama Katonda wammwe; nga mwekoledde ennyana ensaanuuse, nga mumaze okukyama amangu ago okuva mu kkubo Mukama lye yabalagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ntunula, ne ndaba nga mwali mumaze okukyama ne muva mangu ku mpisa Mukama ze yabalagira okukwata. Mwali mukoze ekibi ne munyiiza Mukama Katonda wammwe, nga mulina bye musaanuusizza, ne mwekoleramu ekifaananyi ky'ennyana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ntunula, era, laba, mwali mumaze okusobya ku Mukama Katonda wammwe; mwali mumaze okwekolera ennyana ensaanuuse: mwali mumaze okukyama amangu okuva mu kkubo Mukama lye yabalagira.