Deuteronomy 9:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Natya obusungu bw'Omukama n'obuswandi bwe, kubanga yali abanyiigidde n'okutuusa okubazikiriza. Ne ku mulundi ogwo Omukama yampulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ntya nnyo olw’obusungu bwa Mukama Katonda n’ekiruyi kye, kubanga yali abasunguwalidde nnyo ng’ayinza n’okubazikiriza. Naye era Mukama n’ampuliriza ne ku mulundi ogwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga nnatya obusungu n'ekiruyi kya Mukama bwe yali ng'amaliridde okubazikiriza. Naye Mukama n'ampulira ne ku mulundi ogwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Natya olw'obusungu n'ekiruyi Mukama bye yali abasibidde, n'ayagala okubazikiriza. Kyokka Mukama n'ampuliriza ne ku mulundi ogwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga natya obusungu n'ekiruyi, Mukama bwe yali abasunguwalidde okubazikiriza. Naye Mukama n’ampulira n'omulundi guli.