Deuteronomy 9:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abantu abanene abawagguufu, Abaanaki. Naawe obamanyi era n'enjogera wali ogiwuliddeko nti: ‘Abaanaki ani anaabaŋŋanga?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu baayo be batabani ba Anaki, ba maanyi era bawanvu. Obamanyi bulungi, era wawulirako dda nga boogerwako nti, “Ani ayinza okwolekera Abanaki?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abantu abanene, abawanvu, abaana b'Anaki, be mumanyi, era be mwawulirako nga boogerwako nti, ‘Ani ayinza okubaŋŋaanga?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu baamu banene era bawanvu, bazzukulu ba Anaki abawagguufu, be mumanyi. Era mwawulirako nti tewali ayinza kwaŋŋanga Baanaki abo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abantu abanene abawanvu, abaana b'Anaki, b'omanyi, era be wawulirako nga bagamba nti Ani ayinza okuyimirira mu maaso g'abaana ba Anaki?