Deuteronomy 9:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nakwata ekibi kyammwe kye mwali mukoze, kwe kugamba nti akayana, ne nkookya mu muliro, ne nkaseseggula, ne nkasaamu olusennyente okutuusa nga kafuuse enfuufu ey'olufufugge, ne ngiyiwa mu mugga ogwali gukulukuta nga guva mu lusozi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne nzirira ennyana eyabaleetera okusobya, ne ngyokya mu muliro. Ne ngisekulasekula ne ngisa, n’efuuka olufufugge. Olufufugge olwo ne nduyiwa mu kagga akaali kakulukutira ku lusozi olunene.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne nzirira ekibi kyammwe, ye nnyana gye mwali mukoze, ne ngyokya omuliro, ne ngisambirira, ne ngisekulasekula nnyo, okutuusa lwe yafuuka ng'enfuufu; enfuufu eyo ne ndyoka ngiyiwa mu kagga akaserengeta okuva ku lusozi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne nkwata ekintu ekyo eky'ekibi kyammwe, ye nnyana gye mwali mukoze, ne ngisuula mu muliro. Ne ngikoonakoona, ne ngisekulasekula nnyo okutuusa lwe yafuuka ng'enfuufu. Ne njiwa enfuufu yaayo eyo mu kagga akaserengeta okuva ku lusozi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne nzirira ekibi kyammwe, ennyana gye mwali mukoze, ne ngyokya omuliro, ne ngisambirira, nga ngisekulasekula nnyo, okutuusa lwe yafaanana ng'enfuufu: ne nsuula enfuufu yaayo mu kagga akaserengeta okuva ku lusozi.