Deuteronomy 9:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'Omukama lwe yabasindika muve e Kadesi-Baruneya n'abagamba nti: ‘Mwambuke, mutwale ensi gye nabawa.’ Naye mwajeemera ekiragiro ky'Omukama Katonda wammwe; temwamukkiriza era temwamuwuliriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Mukama bwe yabasindika okuva e Kadesubanea, yabagamba nti, “Mwambuke mwetwalire ensi gye mbawadde.” Naye ne mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe. Temwamwesiga wadde okumugondera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Mukama bwe yabatuma okuva e Kadesubanea, ng'ayogera nti, ‘Mwambuke mutwale ensi gye mbawadde;’ mwajeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe, so temwamukkiriza, so temwawulira ddoboozi lye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era Mukama bwe yabatuma okuva e Kadesi Baruneya ng'agamba nti: ‘Mwambuke mwefuge ensi gye mbawadde’, mwajeemera ekiragiro kye. Mukama Katonda wammwe temwamwesiga, era temwawuliriza ky'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama bwe yabatuma okuva e Kadesubanea, ng'ayogera nti Mwambuke mulye ensi gye mbawadde; ne mulyoka mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe, so temwamukkiriza, so temwawulira ddoboozi lye.