Deuteronomy 9:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Neeyala wansi mu maaso g'Omukama ennaku amakumi ana n'ebiro amakumi ana; neeyala wansi bwe ntyo kubanga Omukama yali agambye okubazikiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe ntyo ne nambaala ku ttaka nga neevuunise mu maaso ga Mukama, okumala ennaku amakumi ana emisana n’ekiro; kubanga Mukama Katonda yali agambye nti ajja kubazikiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Awo ne nvuunama mu maaso ga Mukama ennaku ana (40) emisana n'ekiro; kubanga Mukama yali ayogedde nga bw'agenda okubazikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Awo ne nvuunama mu maaso ga Mukama okumala ennaku amakumi ana emisana n'ekiro, kubanga Mukama yali agambye nti agenda kubazikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne nvuunamira mu maaso ga Mukama ennaku amakumi ana emisana n’ekiro ze nnavuunamirira; kubanga Mukama yali ayogedde ng'agenda okubazikiriza.