Deuteronomy 9:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne nsaba ew'Omukama nti: ‘Omukama Katonda, tozikiriza bantu bo, obusika bwo, bwe wanunula n'obukulu bwo, be waggya mu Misiri n'omukono gwo ogw'amaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne nsaba Mukama nti, Ayi Mukama Katonda, bano be bantu bo, era obusika bwo bwennyini, be wanunula n’obaggya mu nsi ey’e Misiri n’omukono gwo ogw’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne nsaba Mukama nga njogera nti, Ayi Mukama Katonda, tozikiriza bantu bo era obusika bwo, be wanunula olw'obukulu bwo, be waggya mu Misiri n'omukono ogw'amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne neegayirira Mukama, ne ŋŋamba nti: ‘Ayi Mukama Katonda, tozikiriza bantu bo, ababo ku bubwo, be wanunula n'obuyinza bwo, be waggya mu Misiri n'amaanyi go.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne nsaba Mukama ne njogera nti Ai Mukama Katonda, tozikiriza bantu bo na busika bwo, be wanunula olw'obukulu bwo, be waggya mu Misiri n'engalo ez'amaanyi.