Deuteronomy 9:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jjukira abaweereza bo Yiburayimu, Yizaake ne Yakobo. Totunuulira bukalubo bwa bantu bano, obwonoonefu bwabwe n'ekibi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nkusaba ojjukire abaddu bo, era abaweereza bo, Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo osonyiwe obukakanyavu bw’eggwanga lino, n’obunafu bwalyo n’ebibi byalyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jjukira abaddu bo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo; totunuulira bukakanyavu bwa bantu bano newakubadde obubi bwabwe newakubadde okwonoona kwabwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jjukira abaweereza bo Aburahamu, Yisaaka, ne Yakobo. Totunuulira bukakanyavu bwa bantu bano, newaakubadde ebibi byabwe, wadde okwonoona kwabwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Jjukira abaddu bo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo; totunuulira bukakanyavu bwa bantu bano newakubadde obubi bwabwe newakubadde okwonoona kwabwe: