Deuteronomy 9:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
sikulwa ng'ab'omu nsi gye watuggya bagamba nti: “Omukama yalemwa okubayingiza mu nsi gye yabasuubiza; kubanga yali abakyaye, kyeyava abaggyayo, abattire mu ddungu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ab’omu nsi mwe watuggya baleme okugamba nti, “Olwokubanga Mukama yali tasobola kubatuusa mu nsi gye yabasuubiza, era olwokubanga yali abakyaye nnyo, kyeyava abaggyayo mu Misiri alyoke abattire mu ddungu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ensi gye watuggyamu ereme okwogera nti, Kubanga Mukama teyasobola kubatuusa mu nsi gye yabasuubiza, era kubanga yabakyawa, kyeyava abatwala mu ddungu okubatta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
sikulwa ng'ab'omu nsi gye watuggyamu bagamba nti: Mukama teyasobola kubatuusa mu nsi gye yabasuubiza. Era yabakyawa, kyeyava abatwala mu ddungu okubatta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ensi gye watuggyamu ereme okwogera nti Kubanga Mukama teyayinza kubaleeta: mu nsi gye yabasuubiza; era kubanga yabakyawa, kyeyava abafulumya mu ddungu okubatta.