Deuteronomy 9:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bano bantu bo, busika bwo, be waggyayo n'amaanyi go amangi n'omukono gwo omugolole.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga lino lye ggwanga lyo, be bantu bo ab’obusika bwo, be waggya mu Misiri n’obuyinza bwo obungi, n’omukono gwo ogw’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye be bantu bo, era bwe busika bwo, be waggya mu Misiri n'obuyinza bwo obungi era n'omukono gwo ogw'amaanyi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bano be bantu bo, ababo ku bubwo, be waggyayo n'obuyinza bwo obungi era n'amaanyi.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye be bantu bo, era bwe busika bwo, be waggyamu n'obuyinza bwo obungi n’omukono gwo ogwagololwa.