Deuteronomy 9:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino kitegeere olwa leero nti Omukama Katonda wo akukulemberamu mu kusomoka, muliro ogugenda gusenkenya. Ajja kubamerengula, abafufuggaze mu maaso go, olyoke obagobe mangu obasaanyeewo, nga bwe yakugamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kitegeere leero nga Mukama Katonda wo y’akukulembera buli gy’oba olaga yonna, era ng’ali ng’omuliro ogusaanyaawo buli kintu. Ab’amaanyi abo agenda kubasiguukulula abazikirize nga naawe olaba. Noolwekyo ogenda kubagobamu obamalirewo ddala mu kaseera katono, nga Mukama bw’akusuubizza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mumanye leero nga Mukama Katonda wammwe ye wuuyo asomoka okukukulembera ng'omuliro ogwokya buli kintu; alibazikiriza, era alibamegga mu maaso gammwe; bwe mutyo bwe mulibagobamu, ne mubazikiriza mangu, nga Mukama bwe yabagamba
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale mumanye nti Katonda wammwe ye anaabakulemberamu mmwe, ng'ali ng'omuliro ogwokya buli kimu. Ye yennyini ajja kuwangula abantu abo, nga mmwe mutuuka, bwe mutyo mulyoke mubagobemu era mubazikirize mangu, nga Mukama bwe yabagamba mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale manya leero nga Mukama Katonda wo ye wuuyo asomoka okukukulembera ng'omuliro ogwokya; ye alibazikiriza, era alibamegga mu maaso go: bw'otyo bw'olibagobamu, n'obazikiriza mangu, nga Mukama bwe yakugamba.