Deuteronomy 9:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda wo bw'amalanga okubakugoberawo, togambanga mu mutima gwo nti: ‘Omukama yandeeta ne ntwala ensi eno lwa kubeera butuukirivu bwange.’ Ekituufu kye kino, nti amawanga ago Omukama ajja kugakugoberawo kubanga mabi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda wo bw’alimala okugobamu amawanga ago gonna nga naawe olaba, teweewaananga nga weeyogerako nti, “ Mukama ansobozesezza okuyingira mu nsi muno n’okugifuna olw’obutuukirivu bwange;” songa lwa butali butuukirivu bwa mawanga ago, Mukama kyanaava agagobamu mu maaso go.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda wammwe bw'alimala okubagoba mu maaso gammwe, temwogeranga mu mitima gyammwe nti, Tuwangudde ensi eno olw'obutuukirivu bwaffe; kubanga olw'obubi bw'amawanga ago Mukama ky'ava agagoba mu maaso go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukama Katonda wammwe bw'alimala okugobamu abantu abo mu nsi eyo mmwe nga mutuuka, temugambanga mu mitima gyammwe nti: ‘Mukama atuleese mu nsi eno okugyefuga, lwa butuukirivu bwaffe.’ Wabula mmwe nga mutuuka, ajja kugobamu abantu b'amawanga ago, lwa bibi byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Toyogeranga mu mutima gwo, Mukama Katonda wo bw'alimala okubasindika mu maaso go, ng'ogamba nu Olw'obutuukirivu bwange Mukama kyavudde annyingiza okulya ensi eno: kubanga olw'obubi bw'amawanga ago Mukama kyava agagoba mu maaso go.