Deuteronomy 9:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino kitegeere, nti Omukama Katonda wo okukuwa ensi eno ennungi ogitwale, tekivudde ku butuukirivu bwo, kubanga mmwe muli bantu ba nsingo nkakanyavu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Osaana okitegeere ng’ensi eno ennungi Mukama Katonda gy’akuwa okugyefunira tagikuwa lwa kubanga oli mutuukirivu; kubanga oli muntu alina ensingo enkakanyavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mutegeere nga Mukama Katonda wammwe tabawa nsi eno nnungi kugitwala lwa butuukirivu bwammwe; kubanga muli ggwanga eririna emputtu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale mumanye nti Mukama Katonda weewaawo abawa ensi eno ennungi mugyefuge, kyokka tagibawa lwa butuukirivu bwammwe, kubanga muli bantu ba mitima mikakanyavu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale manya nga Mukama Katonda wo takuwa nsi eno nnungi okugirya lwa butuukirivu bwo; kubanga oli ggwanga eririna ensingo enkakanyavu.