Deuteronomy 9:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Jjukira, teweerabiranga lwe wasunguwaza Omukama Katonda wo mu ddungu; okuva ku lunaku luli lwe wava mu Misiri n'okutuukira ddala mu kifo kino, ojeemera Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ojjukiranga, era tosaana kwerabiranga, nga bwe wasunguwaza Mukama Katonda wo ng’oli mu ddungu. Okuviira ddala ku lunaku lwe wava mu nsi ey’e Misiri mubadde mujeemera Mukama n’okutuusa lwe mutuuse mu kifo kino.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mujjukire temwerabiranga bwe wasunguwaza Mukama Katonda wammwe mu ddungu; kubanga okuva ku lunaku lwe mwaviirako mu nsi y'e Misiri okutuusa lwe mwajja mu kifo kino, mujeemera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mujjukire era temwerabiranga bwe mwasunguwaliza Mukama Katonda wammwe mu ddungu. Okuva ku lunaku lwe mwaviirako mu nsi y'e Misiri okutuusa lwe mwatuuka mu kifo kino, mujeemera Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Jjukira teweerabiranga bwe wasunguwaza Mukama Katonda wo mu ddungu: okuva ku lunaku lwe waviiramu mu nsi y'e Misiri okutuusa lwe mwajja mu kifo kino; mujeemera Mukama.