Deuteronomy 9:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ku Korebu wasunguwaza Omukama, n'asunguwala kaabula kata akuzikirize,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lusozi Kolebu mwanyiiza Mukama Katonda, obusungu bwe ne bubuubuuka nnyo n’okwagala n’ayagala okubazikiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne ku lusozi Kolebu mwasunguwaza Mukama, n'abanyiigira, era katono abazikirize.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ku Lusozi Horebu mwanyiiza Mukama, n'abasunguwalira nnyo, n'ayagala okubazikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne ku Kolebu mwasunguwaza Mukama, Mukama n'abanyiigira okubazikiriza.