Ecclesiastes 1:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waliwo oli ky'ayinza okwogerako nti: “Kino kiggya?” Kyaliwo dda mu mirembe giri, kyaliwo nga tetunnabaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waali wabaddewo ekintu ekyali kigambiddwa nti, “Laba kino kiggya”? Kyaliwo dda mu mirembe egyatusooka?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waliwo ekintu abantu kye boogerako nti, “ Laba! Kino kiggya?” Kyamala dda okubaawo mu mirembe egyatusooka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waliwo ekintu kye bayinza okwogerako nti: “Laba kino kipya?” Tekiba kipya, kiba kyabaawo dda mu mirembe egy'edda, ffe nga tetunnabaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waliwo ekintu abantu kye boogerako nti Laba, kino kiggya? kyamala okubaawo mu mirembe egyatusooka.