Ecclesiastes 1:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyasooka tebijjukirwa, naye n'ebyo ebiribeerawo gye bujja, nabyo tebirijjukirwa abo abalijja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewali kujjukira bintu byasooka era tewaliba kujjukira bintu ebyo ebitanabaawo mu ebyo ebijja oluvannyuma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewali kujjukira mirembe egy'edda; so tewaliba kujjukira mirembe gya luvannyuma egigenda okujja mu abo abaliddawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eby'edda tebijjukirwa, era n'ebyo ebirijja tebirijjukirwa abo abalibaawo nga byo bimaze okubaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewali kujjukira mirembe egy'edda; so tewaliba kujjukira mirembe gya luvaanyuma egigenda okujja mu abo abaliddawo.