Ecclesiastes 1:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
neefubirira okunoonya n'okwekenneenya n'amagezi byonna ebikolebwa wansi w'eggulu. Omugugu Katonda gwe yabinika abaana b'abantu bakole, nga muzibu!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nagezaako n’omutima gwange okuyiga n’okwetegereza n’amagezi gange gonna mu ebyo ebikolebwa wansi w’eggulu; omulimu Katonda gwe yawa abaana b’abantu okukola, guteganya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne nzisaayo omutima gwange okunoonya n'okukenneenya olw'amagezi byonna ebikolebwa wansi w'eggulu; bwe bubalagaze obungi Katonda bwe yawa abaana b'abantu okubaluma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nassaayo nnyo omwoyo, ne nkozesa amagezi gange okunoonyereza n'okwetegereza byonna ebikolebwa ku nsi, ne nzuula nga byonna gwe mulimu omuzibu era omukalubo, Katonda gwe yateerawo abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne nzisaayo omutima gwange okunoonya n'okukenneenya o1w'amagezi byonna ebikolebwa wansi w'eggulu: bwe bubalagaze obungi Katonda bwe yawa abaana b'a bantu okubaluma.