Ecclesiastes 1:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nagamba mu mutima gwange nti: “Wuuno neeyongedde ne ntutumuka mu magezi okusinga bonna abankulembera okufuga mu Yeruzaalemu; ndabye bingi eby'amagezi n'okumanya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nayogera munda yange nti, “Nfunye amagezi mangi agasinga ag’abo bonna abaali babadde mu Yerusaalemi, era nfunye amagezi n’okumanya kungi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnateesa n'omutima gwange nze nga njogera nti, “Laba, nneefunidde amagezi mangi okukira bonna abansooka mu Yerusaalemi; weewaawo, omutima gwange gwafuna nnyo amagezi n'okumanya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nalowooza mu mutima gwange nti: “Nfuuse muntu waakitiibwa nnyo, era omugezi okusinga bonna abansooka okufuga mu Yerusaalemu. Ddala nfunye amagezi mangi era n'okutegeera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nateesa n'omutima gwange nze nga njogera nti Laba, neefunidde amagezi mangi okukira bonna abansooka mu Yerusaalemi: weewaawo, omutima gwange gwalaba nnyo amagezi n'okumanya.