Ecclesiastes 1:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo kwe kwefubirira ku ky'okumanya amagezi era ne ku ky'okumanya obulalulalu n'obutamanya. Kyokka nategeera nti yadde na bino, kugoba mpewo buwewo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era omutima gwange ne gumanya okwawula amagezi n’eddalu, n’obutategeera. Ne ntegeera nti na kino nakyo kugoberera mpewo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne nzisaayo omutima gwange okumanya amagezi n'okumanya eddalu n'obusirusiru; nnalaba nga n'ekyo kwe kugoberera empewo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nassaayo nnyo omwoyo okumanya ebifa ku magezi, n'okumanya ebifa ku ddalu n'obusiru, ne ndaba nga nabyo kuba nga kugoba mpewo ogikwate.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne nzisaayo omutima gwange okumanya amagezi n'okumanya eddalu n'obusirusiru: nalaba nga n'ekyo kwe kugoberera empewo.