Ecclesiastes 1:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emigga gyonna gikulukutira mu nnyanja, naye ennyanja tejjula; mu kifo emigga gye gisibuka, eyo gye gidda nate.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emigga gyonna gikulukuta nga giraga mu nnyanja, naye ennyanja tejjula; ekifo emigga gye gikulukutira era gye gyeyongera okukulukutira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emigga gyonna giyiwa mu nnyanja, naye ennyanja tejjula; mu kifo emigga gye gigiyiwa era eyo gye gyongera okuyiwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emigga gyonna gikulukuta giyiwa mu nnyanja, kyokka ennyanja tejjula. Emigga gye giyiwa amazzi gaagyo, era eyo gye gyongera okuyiwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emigga gyonna gigenda mu nnyanja, naye ennyanja tejjula; mu kifo emigga gye gigenda eyo gye gigenda nate.