Ecclesiastes 1:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyaliwo kiriddamu okubaawo, n'ekyakolebwa kiriddamu okukolebwa; wansi w'enjuba teri kiggya,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyo ekyabaawo era kye kigenda okubaawo, n’ekyo ekikoleddwa era kye kigenda okukolebwa; era tewali kintu kiggya wansi w’enjuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekyaliwo kye kinaabangawo; n'ekyo ekyakolebwa kye kinaakolebwanga: so tewali kintu kiggya wansi w'enjuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyali bibaddewo bye binaddangamu okubaawo, era ebyali bikoleddwa bye binaddangamu okukolebwa. Tewali kintu kipya ku nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekyaliwo kye kinaabangawo; n'ekyo ekyakolebwanga kye kinaakolebwanga: so tewali kintu kiggya wansi w'enjuba.