Ecclesiastes 10:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ye omusiru akanya bigambo. Teri amanyi kirijja, ani asobola okutegeeza omuntu ekirimuddirira?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusirusiru asavuwaza ebigambo. Tewali amanyi birijja, kale ani asobola okumubuulira ebiribaawo oluvannyuma lwe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omusirusiru ayongerayongera ebigambo, naye omuntu tamanyi ebiribaawo; era ebiribaawo oluvannyuma lwe ani ayinza okubimubuulira?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusiru ayogera nga tasalako. Tewali amanyi bigenda kubaawo, era tewali ayinza kututegeeza biribaawo nga tumaze okufa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omusirusiru ayongerayongera ebigambo: naye omuntu tamanyi ebiribaawo; n'ebiribaawo oluvannyuma lwe ani ayinza okumubuulira?