Ecclesiastes 10:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okutegana kw'omusiru kumukooya, atamanyi na kkubo limutuusa ku kibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusirusiru aterebuka mangu olw’ekitamugendedde bulungi, n’abulwa n’ekkubo erimutwala mu kibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okutegana kw'abasirusiru kubakooyesa bonna kinnoomu, kubanga tamanyi w'aba ayita okugenda mu kibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusiru by'akola bimukooya nnyo, n'atasobola na kumanya kkubo mw'ayinza kuyita okuyingira mu kibuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okutegana kw'abasirusiru kubakooyesa bonna kinnoomu, kubanga tamanyi w'aba ayita okugenda mu kibuga.